Amawulire
Kooti egobye omubaka Ndooli Museveni
Bya Barbra Nalweyiso
Kooti enkulu e Mubende eragidde akakiiko kebyokulonda okutegeka okulonda okulalaa, okwomubaka wa Buwekula South.
Kooti yeemu kidiridde okusazaamu okulondebwa kwa Williams Ndooli Museveni, Fred Tumwesigye bwawangudde omusango gweyawaaba ngawakanya okulondebwa kwe.
Mu nnamula esomeddwa kkalaani wa kkooti enkulu e Mubende Godfrey Kaweesi, omulamuzi Eva Luswata akkaanyizza noludda oluwaabi nti akakiiko kebyokulonda kaalemererwa okukola obuvunaanyizibwa bwako okutegeka okulonda okwamazima atenga kugoberera amateeka.
Kkooti egambye nti newankubadde Omubaka Museveni teyeenyigira butereevu mu mivuyo, naye waaliwo obulagajjavu obwakolebwa akakiiko kebokulonda nebakyusa empapula okwali ebivudde mu kuonda mu bifo ebyenjawulo oba DR Forms ekyaviirako Fred Tumwesigye okuwangulwa mungeri eyobukulubbya.
Kati owa NRM Fred Tumwesigye ategeezezza nti bamatizza kkooti ensonga kwebayimirira okuwaaba omusango guno.
Omubaka Museveni Williams Ndooli asabye abawagizi mu Buwekula South okukuuma emirembe naye alagidde bannamateeka be okutegeka okujulira kubanga ensobi zonna ezaakolebwa teyazirinaamu mukono zaakolebwa kakiiko kabyakulonda.
Akalulu kano kaalimu abantu 3 okwali owa National Unity Platform, Ainebyona Ronald, Fred Tumwesigye eyali ku kaada ya NRM ne Museveni William Ndooli eyali yeesinmbyewo ku bwannamunigina.