Amawulire

Kooti ekola ku bakenuzi esigalewo

Ali Mivule

March 25th, 2014

No comments

anti corruption message

Kooti etaputa ssemateeka agaanye okuyimiriza emirimu gya kooti etaputa ssemateeka oluvanyuma lwa munnamateeka Davis Tusingwire okuwaaba nti yali ekola emirimu gyaayo mungeri ememnya amateeka.

Tusingwire yali ayagala kooti eno ereme kugenda maaso nakukola mirimu gyaayo nga okwemulugunya kwe tekunawulirwa.

Abalamuzi 5 nga bakulembeddwamu Bart Katureebe bategezezza nga omuwaabi bweyalemeddwa okuleeta obukakafu obumala nti ddala yandikoseddwa byansuso singa kooti eno egenda maaso n’emirimu gyaayo nga okwemulugunya kwe tekunawulirwa.

Abalamuzi bano era bagambye nti okuyimiriza emirimu gya kooti eno kyakulwiisa okuwulira emisango gy’abantu abalala ekitali kyabwenkanya.

Davis Wesley Tusingwire yawaaba nga ayagala kooti etaputa ssemateeka ereme kugenda maasi na mirimu gyaayo nga omusango gweyawaaba nti ekola emirimu mungeri atali mu mateeka tegunawulirwa.

Mu July 2013 emirimu gya kooti eno gyasooka negiyimirizibwa akaseera nga okwemulugunya kuno bwekukyagenda maaso era yazeemu okukola nga 1 January omwaka guno.