Amawulire

Kooti enkulu eyimiriza okugoba abantu ku leerwe

Ali Mivule

July 29th, 2014

No comments

evictions

Kooti enkulu e Nakawa eyimiriza ekitongole kya KCCA okugenda mu maaso n’okumenya enyumba z’abantu abazimba mu ttaka lya leerwe.

Kino kidiridde abantu bano okwemulugunya eri kooti ngabayita mu banamateeka ba Caleb Alaka and company advocates ngabagamba nti KCCA ebamenya mu bukyamu.

Akolanga omuwandiisi wa Kooti enkulu e Nakawa Flavia Nasuna yawadde ekiragira kino ekitandise okukola okuva olwalero okutuuka nga 4 omwezi okujja omusango gw’abantu bano lwegugenda okutandika okuwulirwa.

Olunaku lw’egulo KCCA yatandise okugobaganya abantu ku ttaka lya Railway era abantu abawerako amayumba gabwe gamenyeddwa ndala mu bitundu omuli Namuwongo, Ndeebe Nalukolongo ne’birala.

Abantu bangi nadala bana bwabufuzi bavimiridde ekikolwa kya KCCA kyoka nakulu w’ekibuga Jennifer Musisi, yategezeza nga KCCA bwetarina buvunanyizibwa okuliyirira bantu bano.

Bino webijidde ng’ekitongole ky’egaali y’omuka kyakategeza ng’ebiyumba eby’egaali y’omuka ebitambuza abantu bwebyatuuse edda mu ggwanga.