Amawulire
Kooti enkulu eyise fayiro y’omusango gwa Stellah Nyanzi
Bya Ruth Anderah
Kooti enkulu mu Kampala eyise file yomusango gwomunonyereza we Makerere Dr Stella Nyanzi, ogwokukozesa obubi ebyuma bi kalimagezi bagyetegereeze nga nga tegunalamuwa.
Omumyuka womuwandiisi wa kooti enkulu Mary Ikit, alagidde kooti ya Buganda okubawa file yomusango guno.
Nga 16th July omulamuzi we ddaala erisooka Gladys Kamasanyu yataddewo olwanga August 1st 2019 okulamula omusanago guno, nga yategeeza nti Dr. Stellah Nyanzi ne munamateeka we Isaac ssemakadde, balemererwa okuleet abajulizi baabwe okwewozaako.
Nyanzi avunanibwa okuyita ku Facebook navuma omukulembeze we gwanga, YKM ne nnyina omugenzi Gladys Kamasanyu.