Amawulire

Kooti eragidde akakibwe omukwano

Ali Mivule

January 23rd, 2014

No comments

indian rapists

Poliisi mu ggwanga lya Buyindi ekutte abasajja 13 abagambibwa okusobya ku muwala ekirindi nga bagoberera ekiragiro ky’abakulembeze mu kitundu.

Abakulembeze bano abaatudde mu kafubo beebasazeewo nti muwala ono akakakibwe omukwano ng’ogumuvunaanibwa gwakubaako na luvubuka lw’ayagala

Omuwala ayogerwaako wa myaka 20 era ng’ali ku kitanda mu mbeera mbi.

Kooti ezituulako abantu abakulu mu buyindi zitera okusalawo ku nsonga z’omukwano era ng’oluusi ziragira nti omuntu attibwe era nekiba

Mu ggwanga lya buyindi era, ebikolwa by’okuvvoola abakyala bingi nga waliwo era n’omuyizi eyakakakibwa omukwano ng’ali ku baasi okukkakkana ng’afudde

Amawulire gano gava ku mukutu gwa BBC