Amawulire

Kooti etaddewo ennaku z’okutandika okuwozesa Minisita Nandutu

Kooti etaddewo ennaku z’okutandika okuwozesa Minisita Nandutu

Ivan Ssenabulya

May 3rd, 2023

No comments

Bya Ruth Anderah. Ekiwayi kya Kooti Enkulu ekilwanyisa obukenuzi, kilonze abantu 3 okuva mu bantu babulijjo okutunuulira ebigenda mu maaso mu musango oguvunaanibwa Minisita Agness Nandutu guno nga gwekuusa ku kibba mabaati agaali ag’abantu b’e Karamoja.

Minisita Nanduutu, leero akomezebbwawo mu Kooti okuva mu komera e Luzira gyeyasindikibwa nga 19/04 okutandika okuwozesebwa n’okuwulira okusaba kw’okweyimilirwa nga bweyasaba ng’ali mu komera e Luzira.

Abalondeddwa kuliko Sarah Namayanja, Joanitah Rose ne Lubega Robert Sseguya. Omulamuzi Jane Kajuga Okuo yali mu misango gy’omusango guno.

Kigambibwa nti Minisita Nanduutu nga mubaka mukyaala okuva e Bududa yenyigira mu kubba amabaati 2000 nga gaali g’abantu b’e Karamoja ekyaviirako okufiiriza gavumenti.

Oluuyi oluwaabi nga lukulembeddwamu David Bisamunyu ne Jonathan Muwaganya lutegeezezza Kooti nga bino byonna bwebyaliwo wakati w’omweezi gw’omukaaga omwaka 2022.

Kati Omulamuzi ataddewo olwa nga 25/05 okutandika okuwulirirako omusango.