Amawulire

Kooti y’akulamula oba Kyaligonza anawozesebwa

Kooti y’akulamula oba Kyaligonza anawozesebwa

Ivan Ssenabulya

May 21st, 2019

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Omulamuzi wa kkooti ento e Mukono Juliet Hatanga ataddewo olwanga 27/6/2019 okulamula obanga omusango oguvunanibwa munamagye eyawumula omubaka wa Uganda e Burundi Rtd Maj Gen Matayo Kyaligonza n’abakumi be okuli John Okurut ne Bushidiki Peter, gunagenda mu maaso.

Bano bavunanibwa okukuba omusirikale wa traffic Sgt. Esther Namaganda mu Feb wali mu Masanganzira ge Seeta Mukono.

Omulamuzi okusalawo bwati kyaddiridde Kyaligonza ne
banne obutalabikako mu kkooti nga banamateeka ba Namaganda nga bakulebeddwamu Micheal Aboneka okulambira nti Kyaligonza ne bane okuwozesebwa mu kooti yamajje tekijawo musango guno oguli mun kooti eya bulijjo.

Yye munamateeka wa Kyaligonza David Balondemu abadde akalambidde nti kkooti zino zirina okukwatagana, obutavunaana muntu we mu kooti bbiri, ate emisango gyegimu.