Amawulire
Kyambogo eruyiseeko
Ettendekero ly’e Kyambogo lifunye ekiwandiiko okuva mu kkooti ekiyimiriza okutunda ettaka ly’ettendekero lino.
Kino kiddiridde ekiwandiiko ekyafulumizibwa omulamuzi Irene Akakwasa oluvanyuma lw’abaali abakozi b’ettendekero ly’abasomesa erye Kyambogo nga bakulembeddwamu ategerekese nga Nambirige n’abalala 53 okukwanga kkooti ekiwandiiko nga baagala kuliyirirwa obuwumbi 3.5.
Kino kyawaliriza Kkooti okulagira ettendekero lino litunde erimu ku ttaka lyalyo lisasule abakozi bano.
Abakozi bano balumiriza abatwala ettendekero lino okulemererwa okusasula emisaala gy’abwe ettendekero lino bwelyagatibwa n’amatendekero amalala abiri okukola Yunivasite y’e Kyambogo eriwo kati.
Okusinziira ku akola nga Kyansala w’ettendekero lino Prof Eli Katunguka tewakyali kutya ettaka n’ebinyu ebirala eby’ettendekero lino kati biri mu mikono mirungi.
Kkooti enkuli kati etaddewo nga 11 omwezi guno okuwulira okujulira kw’ettendekero lino.