Amawulire
Kyetume Katosi- Kaliisoliiso awangudde olutalo olusooka
Kkooti enkulu e Nakawa ekkirizza kaliisoliiso wa gavumenti okuyingira mu musango ogwawaabwe aba china abaali balina okukola oluguudo lwe Kyetume Katosi okutuuka e Nyenga
Mu musango guno, kkampuni y’aba China eya CICO yaddukira mu kkooti ng’ewakanya ekya kaliisoliiso okusazaamu kontulakita yaabwe okukola oluguudo luno.
Kkampuni eno eyagala kkooti esazeemu ekiragiro kya kaliisoliiso ekibayimiriza okukola emirimu nga tebakkiriziddwa kwewozaako.
Kkampuni eno yali yawaaba ssabawolereza wa gavumenti ne UNRA ng’erese kalisoliiso
Omulamuzi Masalu Musene agambye nti kiba kikyaamu okuleka kaliisoliiso ebbali ate nga mutwe mukulu mu nsonga eno.
Kati okuwulira omusango kwakutandika nga 29 omwezi guno
Ekyewunyisa nti ssabawolereza wa gavumenti awakanyizza ensonga eno ng’agamba nti yemuwolereza wa gavumenti omukulu sso ssi kaliisoliiso.
Yye Kaliisoliiso Irene Mulyagonja agamba nti obuwanguzi bwebatuseeko bwakwongera okubawa akakisa okulaba nti abo bonna abagootaanye ensonga ze Kyetume Katosi bavunaanibwa