Amawulire
Laddu ekubye abaana
Mu disitulikiti ye Tororo laddu ekubye abaana b’essomero 9 .
Bano bonna bayizi mu ssomero lya Abubakari Primary School nga era baddusiddwa mu ddwaliro nga biwala ttaka.
Omu ku bakozi b’essomero lino Rose Atabong nga y’abaddusizza mu ddwaliro ategezezza nga bano laddu bwebakubye nga bazanyira mu luggya nga n’enkuba tetonya.
Omu ku basawo b’eddwaliro abaana bano gyebatwaliddwa Dr. Andrew Opete ategezezza nti yadde nga bano tebamanyi biri ku nsi, embeera yaabwe teyeralikiriza nnyo.