Amawulire
Laddu ekubye bana- omu afudde
E sembabule entiisa ebutikidde abatuuze oluvanyuma lwa laddu okukuba omwana n’akalirawo.
Bbo 3 batwaliddwa mu ddwaliro nga bali bubi.
Omugenzi ategerekese nga Shadrack Ebbo, nga abalumiziddwa kuliko Joshua Muwanguzi ne Maria Keziyah.
Maama w’omugenzi Margret Nantongo agamba mutabaniwe yakubiddwa laddu mu nkuba eyabadde efudemba.
Omu ku baddukirize ku kyaalo kino ekya Kikondeka Jude Kiganda agamba baawulidde enduulu wabula batuuse kikeerezi okutaasa obulamu bw’omwana ono.