Amawulire

Laddu esse omwana

Ali Mivule

June 24th, 2014

No comments

lightening

Laddu esse omwana n’okulumya abalala 13 e Butalejja

Abaana bano babadde ku ssomero lya Hegesa primary .

Kiddiridde enkuba eya maanyi etonnye mu kitundu kino.

Omwana afudde abadde asoma mu kibiina ky’okusatu nga ye Zainabu Mwima ow’emyaka 10.

Aduumira poliisi ye Butalejja Alex Wabwire agamba nti abakoseddwa ebiwundu babifunye mu kifuba ne ku mikono.

Ono asabye amasomero okugula obukwata laddu okwewala obubenje bwebuti gyebujja