Amawulire
Leero lunaku lw’emakaddiyizo
Bya Ben Jumbe,
Olwaleero ensi yegasse awamu okukuza olunnaku lwamaddiyizo olwa International Museum Day.
Obubaka obujidde ku lunnaku luno, abaddukanaya ebifo omukumirwa ebintu ebikadde mu Uganda basabye gavumenti okubangawo minisitule eyetongodde eyobuwangwa.
Ssentebbe owa Uganda community Museum Association, Abraham Kitakulwa agambye nti nobuwagizi bukyetagisa okuva mu gavumnti okusobola okuyitimusa emirimu gino nokutumbula ebyobulambuzi.
Basabye nti bawebwenga obukadde 500 nti olwo bajja kusobola okubaako byebakola.
Olunnaku luno lwabangibwawo okulaga obukulu bwamakadiyizo, kubanga gakola kinene mu byobuwangwa, ebyobulambuzi ne nonno.