Amawulire
Loodimeeya Lukwago azzeeyo mu kooti- okulonda kuyimirire
Loodi Meeya Lukwago akyalwana nga musajja okusigaza ekifo kye eky’obwaloodi meeya wa Kampala.
Kati mu kawefube w’okulemesa akakiiko k’ebyokulonda okutegeka okulonda anamuddira mu bigere, okwemulugunya kwe akututte mu kooti nga awakanya okulonda kuno kwagamba nti kumenya mateeka nga ensonga ze ku by’okugobwa ku bwa loodi meeya zikyawulirwa mu kooti enkulu.
Lukwago mu kwekubira enduulu eri kooti, agamba nti akakiiko k’ebyokulonda, ssabawolereza wa Gavumenti ne Minister wa Kampala bonna baayisa olugaayu mu biragiro bya kooti bwebalangirira nga ekifo kye bwekiri ekikalu nga ate kooti yalagira addeyo awereze banakampala.
Nga November 25th 2013 kooti enkulu yayisa ekiwandiiko ekigaana Lukwago okugyibwamu obwesige wabula bbo bakansala nebagenda maaso n’okumugoba mu ofiisi.
Lukwago agamba bano banyomola ekiragiro kya kooti nga kino kyakumukosa nyo singa anagyibwa mu ofiisi mungeri emenya amateeka.
Ekiwandiiko Lukwago kyatutte mu kooti kiweereddwa omuwandiisi wa kooti enkulu.