Amawulire
Lukwago akwatiddwa
Loodimeeya w’ekibuga Erias Lukwago akwatiddwa
Ono akwatiddwa nga yakafuluma mu maka ge okwolekera e Katwe gy’abadde agenda okwetaba mu lukungaana lweyayise okutegeeza bannakampala ku kabi akali mu kulonda loodimeeya omuggya.
Lukwago yabadde yaweze dda nti k’abe lubaale oba katonda abadde wakwetaba ku lukiiko luno.
Poliisi ng’ekulembeddwaamu akulira ebikwekweto Samuel Omala evuzinzeeko era bw’etyo n’emuwalawala okumuteeka mu kabangali ye poliisi era bwebatyo nebamutwaala.
Tekinnamanyika wa Lukwago gy’akuumirwa
Akulira poliisi mu kampala n’emiriraano Andrew Kaweesi yategeezezza ng’enkiiko z’abavuganya bwezimenya amateeka kubanga zaayitiddwa mangu nga poliisi tebagiwadde mateeka kwetegeka