Amawulire

Lukwago alumbye Mao- Tuleke tukole kayuyege

Ali Mivule

February 23rd, 2015

No comments

 

Loodi Lukwag at rallymeeya w’ekibuga Kampala Erias Lukwago atabukidde ssenkagale w’ekibiina kya DP  Norbert Mao Olw’okuwera ba memba b’ekibiina  abaagala okwesimbawo mu 2016 kku bifo ebyenjawulo  okunonya akalulu  nga ttabamiruka w’ekibiina tannagulwawo.

Lukwago agamba kino kimenya mateeka nga era kinyomoola enkola ya demokulasiya mu ggwanga.

Nga ayogerako eri bannamawulire olwaleero, Lukwago ategezezza nga okunoonya akalulu okugenda mu maaso bwekuli okulungi kale nga abaagala okwesimbawo basaanye okuddizibwamu amaanyi ku nsonga eno.

Lukwago era ategezezza nga bwewaliwo abaagala yesimbewo ku bwa ssenkaggale bw’ekibiina kino wabula nga tannasalawo ku nsonga eno.

Ono era akubirizza ab’oludda oluvuganya gavumenti okwemalira ku ky’okujja pulezidenti Museveni mu ntebe mu kifo ky’okulumangana.

Wiiki ewedde Norbert Mao y’awera kakuyege yenna nga ttabamiruka w’ekibiina tannatuula.