Amawulire
Lunaku lw’abakozi- abavubuka beekalakaasizza
Nga eggwanga likuza olunaku lw’abakozi ,bbo abavubuka besambye eby’okulukuza nga bagamba ssibamativu n’engeri ebintu gyebitambulamu mu ggwanga.
Bano nga bava mu kibiina kya NRM n;aboludda oluvuganya gavumenti bagamba nti banji tebalina mirimu yadde nga baasoma kale nga tebalaba nsonga lwaki bakuza olunaku lw’abakozi nga bbo ssibakozi.
Bano mukulaga obutali bubativu bwabwe basosse obugaali okuva ku nkulungo ye Busega nebolekera ku kibangirizi kya Pan African Square gyebogereddeko nebannamawulire.
Ministry y’ekikula ky’abantu omulamwa gw’omwaka guno gwesigamye nyo kukutegeera nti okutondawo emirimu kikulu nyo mu kukulakulanya eggwanga.
Wabula byo ebibiina by’abakozi bikyakalambidde nti toyinza kwogera kwogera ku ddembe ly’abakozi awatali kukoona ku musaala gusokerwako.
Ssentebe w’ekibiina ekitaba ebibiina by’abakozi byonna Usher Wilson Owere agamba nti abakozi banji ssibasanyufu kubanga basasulwa bubi.
Emikolo emikulu gigenda maaso district ye Ntungamo nga omukulembeze w’eggwanga Yoweri Museveni ye Mugenyi omukulu.