Amawulire

Lwaki mumenyako bimu- Palamenti etabukidde KCCA

Ali Mivule

April 10th, 2014

No comments

Musisi addresses them

Ababaka ba palamenti olwaleero bakunyizza akulira abakozi mu kibuga Jennifer Musisi ku ky’okumenya ebizimbe ebimu ebirala nebisigala.

Ababaka okubadde Monica Amoding, Wilfred Niwagaba, Medard Ssegona ne Crispus Ayena bagamba nti mu bikwekweto ebikolebwa mu kibuga tewali bwenkanya nga waliwo abalekebwa ate nga nabo baba bamenya amateeka.

Musisi agambye nti tebalina gwebataliza wabula nga tebasobola kumenya byonna mulundi gumu.

Ono agamba nti abantu bamala gazimba mu kibuga nga tebagoberera pulaani kale ng’ekyamangu kirina okukolebwa yadde ngaamaloboozi agavumirira mangi

Musisi abadde wamu n’abakulu okuva mu KCCA nga bagenze okunyonyola ku bitategerekeka mu alipoota ya ssababazi w’ebitabo bya gavumenti