Amawulire
Maama ayokezza muwalawe mu mbugo lwakusirika nga bamusobezzako
Poliisi ye Lwengo eriko maama ow’emyaka 25 gwekutte lwakwokya muwalawe ow’emyaka 7 mu mbugo n’ekisiki ky’omuliro nga amulanga kusirika nga bamusobezzaako.
Cathy Nakitto alumiriza muwalawe okusirika obusirisi nga akalenzi k’emyaka 9 kamusobezzako era olw’obusungu n’amuteeka ogw’omukyoto mu mbugo.
Anonyereza ku misango ku poliisi eno Sofia Neboshi agamba ebitundu by’ekyama eby’omuwala ono byayokeddwa nnyo nga yandyetaaga okulongosebwa.
Ono avumiridde ebikolwa nga bino n’ategeeza nga omukazi ono bweyandiloopye omusango gwa muwalawe okusobezebwako mu kifo ky’okumwokya mu mbugo.
Nakitto kati akuumibwa ku kitebe kya poliisi ekikulu e mbirizi.
Yye omwana ono atambulira mu bulumi nga era takyasoma.