Amawulire
Maciini y’embaawo esazeko omukozi wa ba-china omutwe
Bya Daniel Mwesigwa
Abakozi mu kampuni y aba china enkozi ya plywood eya Brotherhood wood esangibwa mu Kisoga, Ntenjeru town council, mu distulikiti ye Mukono, ekyuma bwekisazeeko omukozi munabwe omutwe nafiirawo.
Omugenzi ategeerekeseko erya brian yakedde kujja kunonya nsimbi mu kampuni eno wabula, ekyuma kyakozesa okuyuza emiti kimusimattuse era nekimusalako ensingo.
Mzee Badru abadde akola ne Brian atutegeezezza nti, alabye Briana nga afubutuka kiwalazima kyokka nga afuuwa musaayi.
Agamba nti ageezzaako okutangira omusaayi okumuggwamu kyokka nga amala biseera ne bakaamaabe baabadde alaajanira aba china tebamuyambye olwobutawuliziganya mu lulimi.
Abakozi balaze obutali bumativu ku ngeri bakama baabwe gyebabayisaamu omuli; okubulwa ebikozesebwa, okucungibwa okutulugunyizibwa ssaako obusente obutono bwebabawa.
Poliisi okuva e Kisoga nga ekwataganye n’eye Mukono nebakakkanya abakozi
Omulambo gutwaliddwa mu ddwaliro e Mulago okwongera okwekebejjebwa.
Kawefube w’okwogerako ne bannannyini kampuni agudde butaka