Amawulire

Makerere batikkira- abazadde basabiddwa okusosowaaza eby’enjigiriza

Ali Mivule

January 28th, 2014

No comments

graduduation

Ettendekero ly’e Makerere liwereddwa amagezi okussa essira ku bintu ebinaavamu ensimbi mu pulaani zaalyo ezo mu maaso.

Kino kyakulisobozesa okufuna ensimbi ezinaddukanya emirimu egy’enjawulo ku ttendekero lino.

Omulanga guno gukubiddwa amyuka ssenkulu w’ettendekero lino  Prof. Mondo Kagonyera bw’abadde ayogerera ku matikkira g’abayizi i wali ku kasozi k’abayivu e Makerere.

Ategezezza nga kino bwekijja okuyamba okufulumya abayizi abalina obwongo obuyiiya enyo kibayambe n’okuyiiya ensimbi.

Abayizi  12,615 beebatikkiddwa zi diguli , dipulooma, PHD ne masters  mu masomo ag’enjawulo.