Amawulire
Makerere evuddeyo okuyamba ab’omu Gheto
Bya Ivan Ssenabulya
Abanonyereza okuva ku ttendekero ekkulu erye Makerere batandise ku kawefube, okubangula abavubuka abawangaliira mu migotteko gyekibuga oba Gheto.
Entekateeka eno baagituumye Kampala Ghetto Youth Training for Entrepreneurial Promotion -KGYTEP nga balubiridde abavubuka 5000 mu divizoni 5 ezekibuga nga baakubasomesa, okubawa obukugu mubyokuddukanya bisineensi.
Entekateeka eno eri wansi wa Makerere University Research and Innovation Fund-Mak-RIF.
Bwabadde ayogerera mu musomo ogwokwebuuza ku bantu ogwatudde e Wakiso, Dr Badru Musisi okuva ku College of Education and External studies agambye nti balina essuubi okuyita mu ntekateeka eno endowooza zabavubuka zaakukyusibwa.
Minisita wa Kampala Hajjat Minsa Kabanda asabye abakugu, bafune ebibalo ebituufu ku bavubuka bano abawejjere, abawangaliira mu migotteko, gavumenti esobole okubategekera obulungi.
Ayagala era bagatibwe mu ntekateeka yettendekero lya National Leadership Training Institute e Kyankwanzi.