Amawulire
Malaaya bamutidde mu loogi
Entiisa ebuutikidde abatuuze b’okumwalo gwe lambu e Masaka oluvanyuma lw’okugwa ku mulambo gw’omukazi atannategerekeka nga gugangalamye mu kitaba ky’omusaayi.
Omukazi ono atabadde nabimwogerako atiddwa mu loogi emu emyandiddwa nga Amenya .
Okusinziira ku ssentebe w’abavubi ku mwalo guno John Kiyimba, omukazi ono alabika abadde malaaya okuva mu Nyendo nga era ateberezebwa okuttibwa omusajja ategerekese nga Mike.
Agamba abantu baalabye Mike nga adduka okuva ewazziddwa omusango guno nga kumpi ali bukunya wabula tebakitegeereddewo nti yabadde asse omuntu okutuusa lwebagudde ku mulambo.
Omwogwezi wa poliisi mu bitundu bino Noah Sserunjoji, agamba Mike yafumise omugenzi ekiso kino mu bulago naavamu omusaayi mungi naafa.
Omulambo gw’omugenzi gutwaliddwa mu ggwanika okwongera okwekebejebwa nga okunonyereza bwekukyagenda maaso.