Amawulire

Malaaya yezoobye n’owa Bodaboda

Ali Mivule

July 16th, 2014

No comments

Malaaya amukutte jjiriwa

Wabaddewo katemba wano ku luguudo lwa industrial area abagoba ba bodaboda bwebatabukidde omukazi agambibwa okubba essimu yamunaabwe oluvanyuma lw’okumutwala mu loogi besanyusemu.

Rashid Tumuhebwa y’atabukidde omukazi ono atategerekese manya ng’amulumiriza okubba essimu ye bweyabadde agenze okunaaba.

Omukazi abadde tasiba zikweya yerwanyeeko okukkakana nga engoye z’omusajja aziyuzizza nga agamba nti ono yamusuubizza okumusasula emitwalo 5 wabula  oluvanyuma lw’okwesanyusamu  nagaana okumusasula.

Omuvuzi wa bodaboda ono naye akalambidde nga abanja essimu era omukazi amuyisizzamu empi ezamangu.