Amawulire
Mandela aziikibwa ssande ya wiiki ejja.
Banansi ba South Africa bakungaanidde mu kibuga Johannesburg ne Soweto okukungubagira eyaliko omukulembeze waabwe Nelson Mandela
Mandela yafudde ng’aweza emyaka 95 oluvanyuma lw’okumala ebbanga ng’atawanyizibwa obulwadde bw’amawuggwe
Abantu abatali bamu obwedda bayimba kko n’okuzinira mu maaso g’agaali amaka ga Mandela mu kibuga Soweto
Ono agenda kuzuukibwa mu kikungu nga gavumenti buli kimu y’egend aokukikolako nga omukulembeze w’eggwanga lino Jacob Zuma bweyarangiridde
Mandela yamala mu kkomera emyaka 27 nga tannafuuka mukulembeze wa South Africa omuddugavu eyasooka mu mwaka gwa 1994
Obukulembeze bwe bwadda mu kifo kya ba magulu meero abaali baboola abaddugavu mu lutalo olwamusimbye enfunda.
Ng’ayogerako eri bannamawulire, Akulira Asouth Africa Jacob Zuma yategeezezza nga bwebassizzaawo emikolo gy’okukungubaga n’okujaguza obulamu bwa Mandela okwetoloola eggwnaga lyonna nga byakumala ssabiiti nnamba.
Ggo amaka g’omukulembeze w’eggwanga lya South Africa galangiridde dda nti pulezident barrack Obama ne Mukyala we Michelle bakusitula okwolekera South Africa ssabiiti ejja okwetaba mu kukungubagira omugenzi.
Kwo okukubaganya ebirowoozo wakati w’abakulembeze b’amawanga ga Africa agatali okuli mu kibuga Paris ekya bufaransa kuwereddwaayo eri Mandela