Amawulire

Masaka: Poliisi ekutte 5 abayonoonye ebintu ku Mariaflo

Masaka: Poliisi ekutte 5 abayonoonye ebintu ku Mariaflo

Ivan Ssenabulya

February 16th, 2022

No comments

Bya Malikh Fahad

Poliisi e Masaka eriko abantu 5 begalidde, nga kigambibwa nti betabye mu kwonoona emmotoka ya poliisi.

Bino byabaddewo poliisi bweyabadde egobagana nabategesi bebivvulu e Masaka ku Mariaflo, ku lunnaku Lwabagalana.

Omwogezi wa poliisi mu maserengeta ga Uganda Muhamad Nsubuga agambye nti poliisi yayitiddwa nekuba omukka ogubalagala, okukakanya abantu ababadde batandise okukola effujjo nokwasa obutebe.

Abantu babadde babanja omuyimbi Pius Mayanja amanyiddwa nga Pallaso, kubanga baali bamulanze

Nannyini kifo, Atanasi Bazeketta agambye nti abantu bagaanye okuguminkiriza naye Pallaso yabadde mu kkubo ngajja.