Amawulire
Mbabazi asabye awummule
Ssabawandiisi w’ekibiina kya NRM Amama Mbabazi awandiikidde abakulembera ekibiina ng’asaba bamukkirize okuwummulamu.
Mu bbaluwa eriko ennaku z’omwezi 20th October omwaka guno, Mbabazi agambye nti ayagala kumuwuulamu okuva olwaleero okutuuka nga 31st December kubanga amaze emyaaka mwenda nga tawummulamu
Mu bbaluwa etabadde mpanvu, Mbabazi agambye nti omumyuka we Dorothy Hyuha ajja kugira akola emirimu gye.
Mbabazi wabula mu bbaluwa eno talaze oba abadde agenda kukola ki mu biseera by’okuwummulamu
Bino bizze nga bannakibiina bongedde okusaba nti Mbabazi adde ku mabbali okuva ku kifo kya bwa ssabawandiisi kubanga ayitirizza okwawula mu kibiina.
Bino byonna Mbabazi abyegaana