Amawulire
Mbabazi bakyamusindikiriza
Emiranga gya ssabawandiisi w’ekibiina kya NRM Amama Mbabazi okulekulira gyeyongedde.
Omwogezi w’akabondo k’ababaka ba palamenti aba NRM Evelyn Anite ategezezza nga nga bwe bakoze okwebuuza okwetolola eggwanga nebakizuula nti Mbabazi takyalina buwagizi mu bantu kale asaana abivemu.
Ono era ategezezza nga essaawa yonna bwebagenda okwanja alipoota erumika Mbabazi okulemererwa okuddukanya obulungi akamyufu k’ekibiina nga amateeka g’ekibiina bwegalagira.
Mungeri yeemu olukiiko olufuzi mu kibiina kya NRM lwakusisinkanamu olunaku olwaleero mu maka ga pulezidenti e Nakasero okukubaganya ebirowoozo ku alipoota eyalaga emivuyo mu kamyufu akaggwa.
Namapala wa gavumenti Justine Lumumba ategezezza nga ba memba abali eyo mu 25 bwebagenda okwetaba mu lukungaana luno.
wabula yeegaanye ebigambibwa nti ensisinkano eno bakuteesa ku kya Mbabazi okuva ku kifo kya ssabawandiisi.
Mbabazi naye asuubirwa okwetaba mu lukungana luno nga ssabawandiisi.