Amawulire

Minisita afulumiza ebiragiro ebirala eri aba Takisi ne Bbaasi

Minisita afulumiza ebiragiro ebirala eri aba Takisi ne Bbaasi

Ivan Ssenabulya

December 6th, 2022

No comments

Bya Mike Sebalu,

Minisita omubeezi owa Kampala Kabuye Kyofatogabye afulumizza ebiragiro ebipya ebitunuulidde okulongoosa entambula y’olukale mu kibuga Kampala.

Mu biragiro ebigya, alagidde ofiisi zonna ne mmeeza ezateekebwawo ezikola kukyoku-bukingira abasabaze, ebweru wa paaka ya bbaasi ne takisi zigibwewo.

Minisita era alagidde bbaasi ne takisi zonna ezibadde zitikka n’okutikkulira ebweru w’ebifo ebyateekeddwako gazeeti ne ppaaka za takisi okudda mu bifo byabwe ebituufu.

Ba broker bonna balina okuggyibwa ku ppaaka za bbaasi, ne za takisi n’ekunguudo mu bwangu nga bwekisoboka.

Minisita era akubirizza abaddukanya Bbaasi ne Takisi okukozesa empeereza y’okubuukinga tiketi ku yintaneeti nga kwotadde n’obutakkiriza mmotoka yonna kukola nga terina bisanyizo omuli okuba PSV, Route Chart ne 3rd Party Insurance.

Kyofatogabye ayongedde okulagira Poliisi ya Uganda ne KCCA okutandika mu bwangu okussa mu nkola ebiragiro bino.