Amawulire
Minisita akakasiza nga abalimi bé Buhweju bwebalumbiddwa ekiwuka ekirya Muwogo
Bya Prossy Kisakye,
Minisitule eye byobulimi ekakasiza okubalukawo kwebiwuka ebyefananyirizako ensenene ebyonoona ekirime kya muwogo mu disitulikiti ye Buhweju.
Kino kidiridde omubaka wa Buhweju County Francis Mwijukye okwekubira enduulu nti blumbiddwa enzige mu kitundu kyakikirira.
Bwabadde ayogerako eri bannamawulire ku Palamenti minisita w’eggwanga ow’ebyobulimi Fred Kyakulaga Bwino agambye nti bino biwuka bya nsiko ebirya ebimera kyokka ekirime kye bisinga okwagala ye muwogo.
Minisita agaseeko nti ebiwuka bino bibeera mu nsiko kyokka olw’ekyeya n’emirimu gy’abantu egiyingiridde obutonde bw’ensi bisengukira mu ttaka eririmibwako emmere.