Amawulire
Minisita akangudde ku ddoboozi eri abasanyawo Entobazi
Bya Gertrude Mutyaba,
Minisita avunaanyizibwa ku by’obulambuzi, ebisolo by’omunsiko n’ebintu eby’edda Tom Butime alabudde banna Ssembabule okukomya omuze gw’okusanyaawo entobazi ekireetedde ekinyonyi kye ggwanga ekya cranes okukendeera.
Mu bubaka bwe bwatisse Minisita Omubeezi ow’ebyolamu era nga ye Mubaka wa Mawogola West, Hanifa Kawooya ku mukolo ogwa Crane Festival oguyindidde ku ssomero lya Kasambya Primary school, mu gombolola ye Lwebitakuli e Ssembabule, Minisita Butime ategeezezza nti abantu bayitiridde okusanyaawo entobazi ate nga ekinyonyi kye ggwanga ki Uganda Cranes kibeerawo lwa Ntobazi.
Akulira ekitongole ki International Crane Foundation mu East Africa Dr Adalbert Ainomu-cunguzi ategeezezza nti omuwendo gw’ebinyonyi gukendeeredde ddala okutuuka ku bitundu 80% naalaga okusomoozebwa ebinyonyi bino byebisanga omuli okubiwa obutwa, okwasa amagi gabyo, amasannyalaze okubikubira ku wire n’ebirala.