Amawulire

Minisita alabudde abeefuula abataputa bólulimi lwa bakiggala

Minisita alabudde abeefuula abataputa bólulimi lwa bakiggala

Ivan Ssenabulya

September 19th, 2023

No comments

Bya Barbara Anyait,

Minisita w’ensonga z’abalema mu minisitule y’ekikula ky’abantu, Grace Hellen Asamo alabudde abantu abeefudde abakugu mu lulimi lwa bakiggala ng’agamba nti babuzaabuza abantu n’ensonga z’okuwulira.

Bwabadde ayogerako eri bannamawulire mu Kampala ng’eggwanga lijjukira wiiki y’okumanyisa abantu bakiggala mu nsi yonna, Asamo agambye nti ebitongole bingi mu ggwanga bikozesa abavvuunuzi b’olulimi lwa bakiggala ab’ebicupuli, b’agamba nti batera okutuusa amawulire amakyamu mu bantu.

Bwatyo Asamo asabye abantu bonna okwewandiisa batandike okuyiga okuvvuunula olulimi lwa bakiggala ku yunivasite y’e Kyambogo, n’agattako nti eno y’emu ku nteekateeka ez’enjawulo ezigendereddwamu okutumbula okufuna amawulire n’empuliziganya mu bakiggala.

Wiiki y’ensi yonna ey’okumanyisa abantu bakiggala ey’omwaka guno etegekeddwa wansi w’omulamwa ogugamba nti, “Okujaguza emyaka 50 egy’okulwanirira eddembe ly’obuntu mu bakiggala: okuba ne Uganda nga Bakiggala basobola okussa omukono ku biwandiiko buli wamu.