Amawulire

Minisita Among avuddeyo ku ddembe lyábakozi

Minisita Among avuddeyo ku ddembe lyábakozi

Ivan Ssenabulya

December 5th, 2023

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Minisita avunaanyizibwa ku kikula ky’abantu abakozi n’enkulaakulana y’embeera z’abantu, Betty Amongi atongozza endagaano y’ensi yonna ku bakozi ne kigendererwa ekyókulwanirira eddembe lyabwe obutatulugunyizibwa bakama babwe.

Bino bibadde mu ttabamiruka w’ekibiina ekigatta abakozi mu ggwanga ekya NOTU owómulundi ogwe 10 mu kampala.

Amongi agambye nti abakozi bakulu nyo mu bulamu bwe mirimu era balina okusigala eddembe lyabwe.

Ono yebziza obukulembeze bwa NOTU obuvuddeko obubadde bukulemberwa usher Wilson Owere olw’obukulembeze obulungi era nasaba abagya obutakwatagana na bakozesa bwebaba bakulwanirira eddembe lya bakozi

Amongi ategeezezza nti balambudde kkampuni ez’enjawulo okwetoloola eggwanga kyokka abakozi ne babategeeza nga bwe bafuna obubenje n’obuvune kyokka tebaliyirirwa kyagambye nti kiba kikyamu.

Mu kiseera kye kimu asabye obukulembeze obupya okulaba ng’abakozi bafuna baterekebwa ensimbi zóbukadde nókulaba nga balina endagaano ezibakakasa nga abakozi ku mirimu.