Amawulire

Minisita asabye wabeewo okukunga abantu mu kulwanyisa Ebola

Minisita asabye wabeewo okukunga abantu mu kulwanyisa Ebola

Ivan Ssenabulya

October 13th, 2022

No comments

Bya Rita Kemigisa,

Minisitule y’ebyobulamu esabye wabeewo amaanyi mu kukunga abantu n’okukwatagana n’abantu ng’emu ku ngeri y’okuziyiza okusaasaana kw’ekirwadde kya Ebola ekyabaluseewo mu Uganda.

Leero ziweze ennaku 25 bukya Uganda yazuula omuntu eyasooka okuba ne kirwadde kino e Mubende.

Obulwadde buno okuva olwo bwasaasaana mu disitulikiti ttaano ne butta abantu 19, ne bukwata 54 ate abantu 20 ne bawona.

Bweyabadde ayogera mu lukiiko lwa baminisita abebyobulamu okuva mu mawanga ga Africa, Minisita owe byobulamu mu ggwanga, Dr Jane Ruth Aceng yategeezezza nga Uganda bw’esuubira okugema Ebola nga doozi 400 zisuubirwa okutuuka mu ggwanga mu wiiki emu ejja.

Aceng era alajanidde abantu okukitegeera nti Ebola talina kakwate na bulogo wabula bagoberera ebiragiro bya b’ebyobulamu.