Amawulire

Minisita atangaziza Ebola tanatuuka mu Kampala

Minisita atangaziza Ebola tanatuuka mu Kampala

Ivan Ssenabulya

October 12th, 2022

No comments

Bya Paul Adude,

Minisita w’ebyobulamu Dr. Jane Ruth Aceng agambye nti Kampala tenalumbibwa kirwadde kye Ebola, n’agumya Bannayuganda nti abakozi b’ebyobulamu bakola butaweera okutangira akawuka kano okwongera okusaasaana okuva mu disitulikiti 5 obulwadde buno gye bwakakasibwa edda.

Kino kiddiridde amawulire agafulumye ku mikutu gy’empuliziganya nga galaga nti waliwo omulwadde we Ebola eyafiiridde mu ddwaaliro e Kiruddu mu Kampala.

Okusinziira ku mawulire agava mu minisitule y’ebyobulamu n’abakiise ku kakiiko akavunaanyizibwa ku Ebola, omugenzi abadde muntu ali ku lukalala lw’abantu ababade balina okuba mu kwawulibwa eyatoloka e Mubende wiiki nga emu emabega n’agenda e Nateete mu Kampala, oluvannyuma n’atwalibwa mu ddwaaliro e Kiruddu gye yafiira nga October 7th.

Bwabadde ayogera oluvannyuma lw’okusiibula abakozi b’ebyobulamu 5 okuva mu kitongole kya Entebbe isolation unit gyebabadde baweereddwa ebitanda okujjanjabibwa ekirwadde kya Ebola, Aceng yagambye nti kwo okwengendereza kukyetaagisa okusimatuka ekirwadde kino.