Amawulire
Minisita Engola wakuziikibwa ku nkomelero ya sabiiti ejja
Bya Jane Nafula. Gavumenti efulumizza enteekateeka egenda okugobelerwa okuziika abadde Minister w’ensonga ez’abakozi Charles Okello Engola.
Engola yakubwa masasi omukuumi we Wilson Sabiiti ku lunaku lw’okubiri kumakya mu maka ga Minister e Kyanja wano mu Kampala.
Kati okusinziira ku Minisita w’ekikula n’okusitula embeera z’abantu Betty Amongi agamba nti omulambo gw’omugenzi gwakukungubagirwa ku lunaku lw’okubiri lwa sabiiti ejja akungubagirwe mu butngole.
Wategekeddwawo n’okusabira omwoyo gw’omugenzi okwawamu ng’eggwanga ku kisawe e Kololo ku lw’okusatu lwa sabiiti ejja era ng’omukulembeze w’eggwanga YK M7 yasuubirwa okubeera omukungubazi omukulu.
Oluvanyuma lw’okusaba ku lwokusatu, omubiri gw’omugenzi gujja kutwalibwa mu maka ge e Kyanja gyegunasuzibwa olwo enkeera ku lw;okuna gujja kuteekebwa ku nyonyi gutwalibwe mu kyaalo hgyazaalwa mu district eye Oyam mu budde obw’okumakya.
Ku kisaawe e Boma wajja kutegekebwawo okusaba ku lunaku lw’okuna mu budde obw’okumakya kiwe omukisa abantu baabadde akola nabo mu kitundu ekyo okumubako eliiso evvanyuma.
Ku lunaku lw’okutaano, omubiri gw’omugenzi gwakutwalibwa mu maka ge gyegunasula oluvanyuma aziikibwe ku lwomukaaga nga 13 ku kyaalo Awangi mu gombolola y’e Iceme mu district y’e Oyam.