Amawulire

Minisita Kasaijja agobeddwa mu kakiko

Minisita Kasaijja agobeddwa mu kakiko

Ivan Ssenabulya

March 1st, 2023

No comments

Bya Mike Sebalu,

Akakiiko ka Parliament akakola ku gw’okunoonyereza ku nsonga z’amabaati agagambibwa okuba nga gagabanyizibwa abanene mu gavt songa galina kuweebwa batuuze mu bitundu by’e Karamoja kazizzaayo Minister akola ku by’ensimbi Matia Kasaija lwakulemererwa kukawa mawulire malambulukufu ku muwendo gw’ensimbi entuufu Ministry zesindika eri Office ya Ssabaminista nga zigenderera kukola ku bigwa bitalaze.

Akakiiko kano nga kakulirwa omubaka omukyala owa Adjumani Parliament Jessica Ababiku tekabadde kamativu n’engeri Minista gyalemereddwa okumenyamenya n’ensimbi ezisindikibwa eri Office ya Ssabaminista  okuyambako mu ntekateeka ez’okuddaabulula ebitundu ebya Karamoja.

Wabula nga tannaba kuddizibwayo, asabye aweebwe omukisa yennyonyoleko ng’omu ku bantu abaweebwa amabaati agoogerwako ensangi.

Ono ategeezezza nga bweyafuna amabaati 750 geyagabira amakanisa ag’enjawulo n’amasomero mu bitundu byakiikilira eby’e Buyanja.

Wabula agamba nti amabaati gano yali teyagasaba era nga mwetegefu okukomyawo amabaati 300 agafikkira nga mukiseera kino agakuumira mu luja ewuwe.