Amawulire

Minisita Kitutu addiziddwayo mu Kkomera

Minisita Kitutu addiziddwayo mu Kkomera

Ivan Ssenabulya

April 12th, 2023

No comments

Bya Ruth Anderah,

Minisita avunaanyizibwa ku nsonga z’e Karamoja Mary Gorreti Kitutu Kimono kkooti ewozesa abakenuzi e Kololo emugaanye okweyimirirwa neddamu ne musindika mu kkomera e Luzira lwa olw’okuddukanya bubi amabaati agalina okuweebwa abatuuze be Karamoja.

Omulamuzi aguli mitambo Joan Aciro agambye nti abantu 3 ku bana minisita babadde aleese okumweyimirira babadde tebalina bisanyizo kkooti byeyagala mu bano mwemubadde ne bba Michael George Kitutu, abalala kuliko Simon Mukango eyali omubaka wa Bubulo County East ne Joel Wandangwa.

Kitutu yali asabye Kkooti emuyimbule ku kakalu ka kkooti nga yeekwasa embeera yóbulamu bwe etali nnungi era nga yali ayanjudde nekyapa kyettaka okusigala mu kkooti

Minisita avunanibwa wamu ne mugandawe Kitutu Abayo, nómuwandiisiwe, baweerenemba na misango mukaaga okuli; okufiiriza gavt ebintu, obuli bw’enguzi, okufuna ebintu ebibbe, n’okwekobaana okufera.

Okusinziira ku ludda oluwaabi, bano wakati wa June 2022 ne January 2023 ku ofiisi ya Ssaabaminisita e Namanve tebatuusa mabaati 14,500 gebalina okuwa abatuuze be Karamoja abali mu mbeera mbi.

Kigambibwa nti amabaati gano bagegabanya na bannene mu gavumenti era nga bonna abafuna amabaati gano poliisi egamba ekyakola ku fayilo zabwe ziweebwe ssabawaabi wa gavumenti babitebye.

Minisita alagiddwa okudda mu Kkooti nga April 14th 2023 ku Lwokutaano lwa wiiki eno.