Amawulire

Minisita Kitutu akomawo leero mu Kooti

Minisita Kitutu akomawo leero mu Kooti

Ivan Ssenabulya

April 12th, 2023

No comments

Bya Mike Sebalu. Minister avunanyizibwa ku nsonga za Karamoja Mary Gorette Kututu leero asuubirwa okukomezebwawo eri Kooti ewozesa abateeberezebwa okwenyigira mu bukenuzi, okuwulira okusaba kwe okw’okweyimilirwa.

Minister Kitutu ne Mwanyina Micheal Naboya Kitutu, sabiiti ewedde basindikibwa ku mere e Luzira okutuusa olunaku olwa leero.

Omulamuzi Marion Aciro yali mu mitambo gy’omusango guno.

Ssabiiti ewedde bano yabasindika mu kkomera e Luzira okutuusa leero Kooti lwenasalawo oba beyimilirwa oba nedda.

Kitutu avunanibwa emisango 2 okuli ogwokubulankanya ebintu bya gavumenti wamu n’okwekobaana okuzza omusango.

Bano bavunaanibwa wamu ne Senior Assistant Secretary mu Ministry y’ensonga z’e Karamoja wabula ono nga teyakabikako eri Kooti sabiiti ewedde ekyawaliriza oludda oluwaabi okusaba Kooti ono ateekebweko ekibaluwa kibakuntumye era omulamuzi kyeyakola.