Amawulire
Minisita Nandutu naye ateereddwa emabega wémitayimbwa
Bya Prossy Kisakye,
Minisita omubeezi owénsonga zé Karamoja, Agnes Nandutu eyakedde okwetwala yekka ku poliisi ya bambega e Kibuli, okubuuzibwa akana nakataano ku byokubba amabaati ga bakaramoja ateereddwa emabega wémitayibwa.
Bino bikakasiddwa amyuka omwogezi wa poliisi mu ggwanga polly Namaye.
Kati omuwendo gwa baminisita ogwakakwatibwa gutuuse ku bantu basatu, okuli minister owensonga ze karamoja, Mary Gorreti Kitutu, ne Amos Lugoloobi minisita omubeezi avunanyizibwa ku byensimbi nokuteekerateekera eggwanga.
Amawulire getufunye galaga nti Nandutu mu kiseera kino asibiddwa ku poliisi ye Kira.
Baminisita n’ababaka ba palamenti abalala bangi poliisi betaddeko eriiso ku bya mabaati gano
Mungeri yemu,Ssaabawaabi wa gavumenti, Jane Frances Abodo agamba nti okunoonyereza ku kibba mabaati agalina okuweebwa abatuuze bé Karamoja kukyagenda mu maaso.
Bwabadde ayogerako eri bannamawulire ku palamenti, Abodo agambye nti bakyalina fayiro eziwerako ezitannaba kuyimirizibwa nga okunonyereza kwazo kukyagenda mu maaso.
DPP ategeezezza nti bagguddewo fayiro ezisoba mu 40 okutandikira ku mumyuka wa pulezidenti okutuuka ku bakulira abakozi ku zidisitulikiti.
Agamba nti abantu fayiro zaabwe ezimalirizibwa basindikibwa mu kkooti, ate ezitaliiko bujulizi zaakuggalwawo.