Amawulire
Minisita wébyettaka asabye abali byámayumba nébizimbisibwa okuba abeesigwa
Bya Prossy Kisakye,
Minisita avunanyizibwa kubyettaka Amayumba nenkulakulana yebibuga Judith Nalule Nabakooba asabye ebitongole ebiri kugw’okuzimba amayumba agatundibwa nebyo ebikola mu bintu ebyeyambisibwa mu by’okuzimba, okola omulimu n’obwesigwa nga bazimba amayumba agasanidde era amawangazi.
Bino abyogeredde Lugogo mu kibangirizi kya bannamakolero bwabadde asisinkanyemu ebitongole ebizimba amayumba n’ebintu ebyeyambisibwa mu kuzimba(Hardwares) wansi womukago ogubigata ogwa Construction Hardware Dealers Association bwebibadde bikuganye okubaganya ebirowozo kungeri gyebagenda ogenda mumaso nokola omulimu gwabyo nga tebifirwa.
Ku mukolo guno omumyuka wa sentebe wékibiina omwegatira bannamakolero mu ggwanga ki Uganda Manufacturers Association, Agha Ssekalala Junior asinzidde wano n’asaba Minisita Nabakooba okubakwasizako nga anyikiza enkola ya Buy Uganda Build Uganda(BUBU) kisobozese abali mu kisawe ekyo okutumbula eby’enfuna by’eggwanga.
Yye Abbas Mutyaba Ssentebe womukago ogutaba abatunda eby’eyambisibwa mukuzimba ki Construction Hardware Dealers Association ayagala aba UNBS, Gavumenti ne Uganda Manufacturers Association okubayambako babaterewo omutindo ogulina ogobererwa kibataase okumalawo abantu abatunda ebintu ebitatukana namutindo.