Amawulire
Minisitule ekakasiza okubalukawo kwe kirwadde kye Ebola e Mubende
Bya Ndaye Moses,
Ministry y’eby’obulamu ekakasizza okubalukawo kw’ekilwadde ki Ebola mu district y’e Mubende.
Kiddiridde abantu 06 okufa mu magomolola ly’e Kiruma ne Madudu nga 3 babadde banna bato ate abalala 3 babadde bantu bakulu nga baafa wakati wa 1-15/09/2022.
Kati bw’abadde ayogerako eri ab’abawulire ku kitebe kya Ministry y’eby’Obulamu mu Kampala, Omuwandiisi w’enkalakkalira mu Ministry y’eby’obulamu Dr Diana Atwiine ategeeza nga ebivudde mu kukebera omusaayi bwebikakasizza nga kati batandise omuyiggo ogw’okuzuula abo bonna abaabaddeko ku lusegere lw’abantu abo bonna abafudde.
Atwine era ategeezezza nga bwebaliko n’ekibinja ky’abantu kyebasindise mu kitundu ekyo okutandika ku nteekateeka ey’okwetangira okusasaana kw’ekilwadde kino ate bakole ne ku nteekateeka eziika oyo eyafudde nga mukiseera kino akuumirwa mu dwaliro eddene e Mubende.