Amawulire

Minisitule yebyobulamu enyonyodde ku nkozesa y’eddagala erigema COVID-19

Minisitule yebyobulamu enyonyodde ku nkozesa y’eddagala erigema COVID-19

Ivan Ssenabulya

December 23rd, 2021

No comments

Bya Christine Nakyeyune

Minisitule yebyobulamu evuddeyo okulungamya ku byokugattika ebika byeddagala, erigema ssenyiga omukambwe, neku kya doozi eyokusattu oba Booster doose.

Akulira ebyobujanjabi mu minisitule Dr. Henry Mwebesa agambye nti booster dose ekola eri abantu, abamalayo doozi zaabwe neawayitawo emyezi 6.

Dr Mwebesa era anyonyodde ku kyokugattika eddagla, gagambye nti abantu bebakuba AstraZeneca doozi esooka basobola okubakuba Pfizer oba Moderna ku doozi eyokubiri neku booster doozi.

Bebakuba Pfizer nebebakuba Moderna basobola okubakuba AstraZeneca, ku doozi eyokubiri atenga bebakuba Johnson & Johnson basobola okubakuba Pfizer oba Moderna ku doozi eyokubiri.

Mungeri yeemu bebakuba Sinopharm oba Sinovac okusooka, basobola okubagema ne Astrazeneca, Pfizer oba Moderna.

Bino byonna bijidde mu bbaluwa gyeyawandiise nga 21 Decemba eri omubaka wekibiina kyamawanga amagatte atuula kuno.

Ono yabadde asabye okuwabula kukolebwe ku nsonga eno naddala enkozesa yeddagala erigema.