Amawulire
Minisitule y’ekikula kyabantu eyanukudde bebakekejjula mu mbugo
Bya Musasi Waffe
Abantu bongedde okuvaayo okwogera kukyabakazi abakekejjulwa mu mbugo, okusaba bagattibwe ku lukalala lwabaliko obulemu.
Waliwo abakyala abavuddeyo okukola okusaba kuno mu disitulikiti ye Bukwo nga bagamba nti bagala bayambibweko ngabalala kubanga nabo obulamu bwabwe tebwasigala kyekimu.
Frank Mugabi ye mwogezi wa minisitule yekikula kyabantu, naye agambye nti kino kiyinza kusoboka ssinga enongosereza zikolebwa nezitekebwa mu tteeka lyabaliko obulemu erya Persons Disabilities Act.
Wabula agambye nti babadde tebanafuna ku kusaba okwo nga minisitule yekikula kyabantu.
Omubaka wa gavumenti e Bukwo Samuel Mpimbaza Hasahaka, yagambye nti abadde afuna abakyala abamusaba bwebati.