Amawulire
Minisitule yetaaga obuwumbi 76 okuva eri Gavt okulwanyisa Ebola
Bya Rita Kemigisa,
Minisitule y’ebyobulamu ekyalinze ensimbi okuva mu gavumenti ez’okulwanyisa ekirwadde kya Ebola.
Bwabadde ayanjula ekiwandiiko akawungeezi ka leero mu maaso ga palamenti, minisita ow’ebyobulamu ebisookerwako Margret Muhanga ategeezezza nti minisitule yakola ebbago era n’eyanjula enteekateeka yokulwanyisa ebola okumala ebbanga lya emyezi esatu nga yetaaga obuwmbi 76 naye tebazifunanga.
Agamba nti enteekateeka eno yayanjulwa mu kabineti n’eweebwayo mu minisitule y’ebyensimbi okufuna ssente kyokka n’okutuusa kati tebannaba kuddibwamu.
Okusinziira ku Muhanga, abagabi bobuyambi bebakolagana nabo abawerako bebabadde bawagira entekateka eyokulwanyisa ebola omuli, okulondoola abantu abakwataganako na balwadde be ebola, okola ku byentambula, okuziika abafudde ebola n’ebirala.