Amawulire
Mmotoka zamafuta 400 zikoleddwako n’eziyingira Uganda
Bya Ritah Kemigisa
Waliwo essuubi eri abagoba bebidduka, ku nsonga yebbeyi yamafuta erinnya buli kadde.
Waliwo emmotoka zamafuta kika kya lukululana 400 ezakoleddwako, ekitongole ekiwooza ekya Uganda Revenue Authority neziyingira egwanga, ku nsalo e Malaba.
Omujuzo gwemmotoka zebyamaguzi ku nsalo, gweguneyezebwa ku bbula lyamafuta ekivuddeko ebbeyi ya petulooli okulinnya, okugeza mu disitulikiti ye Hoima liita yamafuta yatuuse ku mutwalo 1 mu 2,000 nemu bitundu byegwanga ebirala.
Mu kiwandiiko minisitule yamasanyalaze nobugagga obwomu ttaka kyeyafulumizza nga 16 January 2022, balambise nti wakati mu kusomozebwa okuliwo, ebbeyi yamafuta tetekeddwa kusukka 5000/-.
Kati bwabadde ayogerako naffe Ibrahim Bbossa, omukwanaganye wemirimu mu URA nabantu bebbweru, lukululana 370 nokusoba zebakoleddwako olunnaku lweggulo lwokka.
Embeera eno, yava ku bagoba ba loole abediima, nga bawakanya engeri gavumenti ya Uganda gyekttemu entekateeka yokukebera ssenyiga omukambwe mu bayingira mu gwanga n’okubajjako $ 30.
Oluvanyuma okukaanya kwatukiddwako abagob ba loole babakebere ku bwerere.