Amawulire

Mpuuga alonze ba minisita 30

Mpuuga alonze ba minisita 30

Ivan Ssenabulya

June 25th, 2021

No comments

Bya Damalie Mukhaye

Akulira oludda oluvuganya gavumenti mu palamenti Mathius Mpuuga ayanjudde olukiiko lwaba minisi be bagenda okukola nabo.

Bano abalonze okuva mu bibiina ebyenjawulo, bwebali ku ludda oluvuganya gavumenti nga bwekirambikiddwa mu nyingo eye 82 akatundu A(C) nemu mateeka agafuga palamenti.

Ono alonze ba minisita ab’ekisikirize 30 nga 18 bava mu National Unity Platform ekibiina ekikulembera abavuganya gavumnti.

Ba minisita 7 bavudde mu FDC, 2 ba nampa wengwa, DP bajiwadde minisita 1, UPC 1 naba PPP nebaweebwa ekifo 1.

Ku lukalala lwafulumizza, omubaka wa Ndorwa East Wilfred

Niwagaba alondeddwa ye Ssabawolereza wa gavumenti, omubaka omukyala owa Kampala Malende Shamim minisita wa ssemateeka ne’ssiga eddamuzi, omubaka Muhamadh Muwanga Kivumbi owe’Butambala ye minisita webyensimbi nokutegekera egwanga.

Abalala Katusabe Atkins owa Bukonzo West okuva mu FDC yakulira abakozi oba Public Service, Nyeko Derrick owa Makindye East ye minisita wensonga zobwa pulezidenti atenga

Dr. Bwanika Abed owa Kimaanya-Kabonera ye minisita webyobulimi.

Kawalya Abubaker, omubaka wa Rubaga North ye minisita wa Kampala, omubaka wa Nakawa East Ronald Balimwezo,

Ye minisita webyettaka nabalala.