Amawulire

Mpuuga asabye gavt okuteeka ekitiibwa mu ddembe lyóbuntu

Mpuuga asabye gavt okuteeka ekitiibwa mu ddembe lyóbuntu

Ivan Ssenabulya

November 18th, 2022

No comments

Bya Ritah Kemigisa,

Akulira oludda oluwabula Government mu Parliament Mathias Mpuuga azzeemu okujjukiza gavumenti okuteeka ekitiibwa mu nkwasisa y’amateeka bwekituuka ku dembe ly’obuntu.

Okwogera bino abadde yefumiitiria nga leero bwegiweze emyaka 2 nga banna Uganda 54 batiddwa mu bwegungungo obwaliwo mu Kampala n’abalala nebasigala n’ebisago, eyali yesimbyewo ku ntebe y’omukulembeze w’eggwanga bweyakwatirwa mu bitundu by’e Luuka.

Mu kiwandiiko Mpuuga kyafulumizza, ono era soomozezza gavumenti ku kutuukiriza obweyamo bwayo bweyavaayo netegeeza nga bweyali egenda okuliyilira abenganda z’abantu abo wabula nga n’okutuusa kati mpawo kyali kikoleddwa.

Ono era awalampye Poliisi olw’okulemererwa okuvaayo ne alipoota ekwata ku ttemu lino wadde okubaako omuntu gwebavunaana olw’okubeera emebag w’ettemu lino.

Bino byonna byaliwo wakati wa nga 18-19/11/2022 wano mu Kampala n’ebitundu ebilala.