Amawulire
Mu China tekyaali kuzaala omu
Kyadaaki gavumenti ya china ekirizza abafumbo okuzaala abaana abasukka mwomu.
Etteeka eribaddewo nga buli bafumbo akkirizibwa okuzaala omwana omu yekka nga era okukukwata nga ozaala nga akamyu omalira mabega wa mitayimbwa n’okusasula ngassi.
Olukiiko olufuga ekibiina ekiri mu buyinza ekya National People’s Congress lwelukoze enongosereza mu tteeka lino nga kati abafumbo bakkirizibwa okuzaala abaana 2 bokka .
Etteeka erikugira abazadde obutazala mwana asukka mw’omu lyatekebwawo mu 1979 wabula nga bbo ab’omubyalo basobola okuzala abaana 2 singa asooka aba muwala.
Kino kiviriddeko abakyala bangi mu ggwanga lya china okujjamu embuto wabula nga gavumenti ebadde ekyakalambidde nga abantu abasukka mu kawumbi mu ggwanga lya china bwebali abangi enyo nga tebagala kwongerako balala bangi.