Amawulire
Mufti Galabuzi asabye gavt okulwanyisa obutali butebenkevu
Bya Prossy Kisakye,
Supreme Mufti Sheikh, Mohammed Galabuzi asabye gavumenti okulwanyisa obutali butebenkevu obweyongera mu ggwanga.
Bino abyogedde bwabadde atuusa Oobubakabwe obwa Iddi ku muzikiti e Kibuli enkya ya leero.
Sheikh Galabuzi agamba nti tewali muntu yenna mu Uganda alina obukuumi kati olw’effujjo ery’emmundu n’obulumbaganyi obw’ekitujju obukolebwa mu ggwanga nga nékisembyeyo lwe lulumba kussomero lya siniya e Kasese nga 16th June okwaleka abantu abasoba mu 40 nga bafudde.
Ono mweraliikirivu olwa gavumenti okulemererwa okukola ku misango egy’amaanyi n’obutujju kyokka nga kimu kya kusatu ku mbalirira y’eggwanga kigenda mu by’okwerinda.